Wandisaki – Rema Namakula (2022)

Lyrics

Nessim Pan Production

Amaaso gange tegatera kukemebwa
Kuba ekirungi n’ekibi nkyawula
Ate n’ekinaazaala, emirerembe
Nakyo Mukama akimponya
Nzijukira nakulabako bulabi bwenti
Emmeeme n’entyemuka
Simanyi kye wankola
Oba kye wampa kyonna
Ah naye nga kikola

Mbuuza wandiisa ki?
Wannywesa ki?
Wantegesa butego ki gwe?
Ah nze wandiisa ki?
Wannywesa ki?
Abalala byebataalaba eyo
Mbuuza wandiisa ki?
Wannywesa ki?
Wantegesa butego ki gwe?
Ah nze wandiisa ki?
Wannywesa ki?
Nkusaba leero ombuulire

Omulungi ateegomba kuba na mu butaala
Tolinga bali ba Arnold
Bw’agula eccupa
Olwo ne yeetala ebbaala yonna emulengere
Nze abo wabamponya, ba kayoola
Ate nange ndi simple nga bw’olaba
Wamma sembera, nange kansembere
Tukikubemu bwetuti
Sabula

Palabapa, palabapa, palabapa, palabapa
Palabapa pa pa pa pa pa
Palabapa, palabapa, palabapa, palabapa
Palabapa pa pa pa pa pa

Mbuuza wandiisa ki?
Wannywesa ki?
Wantegesa butego ki gwe?
Ah nze wandiisa ki?
Wannywesa ki?
Abalala byebataalaba eyo
Mbuuza wandiisa ki?
Wannywesa ki?
Wantegesa butego ki gwe?
Ah nze wandiisa ki?
Wannywesa ki?
Nkusaba leero ombuulire

Abageya bageya
Abanyumya banyumya ebiboozi
Naye nze ssibiwulira
Nafuuka kiggala
Ppamba gwe ntadde mu matu gano g’olaba babe
Sseegomba bingi
Kuba bye neegomba byonna
Biri mu gwe dear
Wamma sembera, nange kansembere
Tukikubemu bwetuti
Sabula

Palabapa, palabapa, palabapa, palabapa
Palabapa pa pa pa pa pa
Palabapa, palabapa, palabapa, palabapa
Palabapa pa pa pa pa pa
Sabula
Palabapa, palabapa, palabapa, palabapa
Palabapa pa pa pa pa pa
Palabapa, palabapa, palabapa, palabapa
Palabapa pa pa pa pa pa

Mbuuza wandiisa ki?
Wannywesa ki?
Wantegesa butego ki gwe?
Ah nze wandiisa ki?
Wannywesa ki?
Abalala byebataalaba eyo
Mbuuza wandiisa ki?
Wannywesa ki?
Wantegesa butego ki gwe?
Ah nze wandiisa ki?
Wannywesa ki?
Nkusaba leero ombuulire

ALSO SEE;
Lean on Me – Rema Namakula (2015) 

(Visited 158 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

17 + 20 =

<