Tujune – Bobi Wine (2022)

Lyrics

Mukama leero nzize nenyike jooli nga nina ensonga zange
Era leero nina ebibuuzi bingyi ebinyiga mutima gwange
Tekitegeza nti byona mukama byokoze nti ssisima
Naye yegwe gwetulopera alina obuyinza obusemba
One day nali mu Ghetto nebambuza
Nti oba mukama bamuwamba netutamanya
Nti oba yeye akyafuga eggule nensi
Lwaki byeyalagira abamu babisa wansi
Abakola ebituufu bebabonabona
Nga abakola ebikyamu bebababonyabonya
Netubulwa oluusi anabagambako kuba nebakabona bbo oluusi babiberamu

Ekyo kiretedde bangi okubusabusa nokukiriza kwabwe kukendede
Balaba bakola bituufu bayisibwa bubi
Nga ate bbo abakola ebikyamu baterede
Nkimanyi buli kiriwo kati kyaberawo ko mubyawandikibwa era tubisomako
Nga bwewalaga amanyi mumirembe jiri
Nsaba nafe otukozese ogalage

Mukama nsaba tujune
Ozibule amaaso abantu balabe
Enjegere zafe zikutuke
Tuwone okuba mumikono jabalabe baffe
Mukama nsaba tujune
Otuwe amanyi tuwaguze
Enjegere zafe zikutuke
Totuleka kuba mumikono jabalabe baffe

My lord
Watusubiza nti bwetukwesiga mukama tuliba bagumu nga olusozzi lwe Sayuni
Notusubiza nti olitekawo emezza maaso gabalabe baffe nobalabisa
Bwebatukuba ku tama erisoka
Mukama twasawe nedala nebalisabula
Bwetwalondawo okukozesa eddembe
Ate bo bakozesa lyanyi era nebatukyunya
Tubayisa bulungi batuyisa bubi
Nebetulaga ekisa batusasuza bukyayi

Kyetuva tusaba otuyambe twerwaneko katonda waffe
Balyoke balabe kyebayita amanyi go katonda waffe
Watugamba nti tubere bamazima gegalitufula abedembe
Era mukama netukikola
Kati abogera amazima wano bebatalina mirembe banji batubwa dda

Mukama nsaba otujune
Ozibule amaaso abantu balabe
Enjegere zafe zikutuke
Tuwone okuba mumikono jabalabe baffe
Mukama nsaba tujune
Otuwe amanyi tuwaguze
Enjegere zafe zikutuke
Totuleka kuba mumikono jabalabe baffe

Mukama leero nzize nenyike jooli nga nina ensonga zange
Era leero nina ebibuuzi bingyi ebinyiga mutima gwange
Ate oba nali mu Ghetto nebambuza
Nti oba mukama bamuwamba netutamanya
Nti oba yeye akyafuga eggule nensi
Lwaki byeyalagira abamu babisa wansi

Kiretedde bangi okubusabusa era nokukiriza kwabwe kukendede
Balaba bakola bituufu bayisibwa bubi
Nga ate bbo abakola ebikyamu baterede
Wagamba nti tubere bamazima gegalitufula abedembe
Ekyo mukama netukikola
Kati abogera amazima wano bebatalina mirembe

(Visited 52 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

four × 4 =

<