Situka – Bobi Wine (2016)

Lyrics

When the going gets tough
The tough must get going
Especially when leaders become misleaders
And mentors become tormentors
When freedom of expression
Becomes a target of suppression
Opposition becomes our position
Bossss

Omutima gummenyese
Naye nga kyemanyi munywanyi nawe gukumenyese
Abantu buli w’otunula bayongobedde
Bye basuubira nga byawukana ku bye balaba!
Ate, abalala bo ne babyetamwa
Banyigirizibwa ne babulako gye baloopa baabuwe
Nga ne gye wandibadde oloopera
Nayo kibeera kizibu okufunayo obwenkanya
Nkugamba tosigala wansi
Ensi bw’ekusuula yimukawo mangu otambule
Mu nsi teri kyangu
Lugendo luwanvu
Situka tugende mu maaso

Yimuka tutambule
Embeera emalamu amaanyi
Naye topowa tugende
Topowa tutambule
Olugendo luwanvu bwetulemerako tutuuka
Yimuka tutambule
Embeera emalamu amanyi
Naye topowa tugende
Topowa tutambule
Amaziga g’okaaba gakaabe nga bw’otambula

Emyaka gyibadde mingi
N’okunyigirizibwa nakwo era kubadde kungi bboyi
Essuubi libadde lingi
Nga tusuubira nti oba embeera enakyukamu wakiri
Wabula nze kye nzudde enkyukaakyuka gy’oyoya
Kati eri mikonogyo mwennyini
Kubanga oyo gw’olinamu essuubi
Naye mu mazima essuubi yalitadde mu ggwe ssebo
Kale ggwe buli w’onogwa yimuka otambulirewo
Ebisooto obyekubireko mu kkubo
Kubanga buli lw’onogwa n’olaga nti oggwaamu amaanyi
Eno balabira ku ggwe ssebo
Obwo obugubi bw’oyitamu bangi bwe bayitamu
Naye tubeerezaamu bwetutyo ne tumalako
Omuliro ogutwakiramu gukira gwe tuyitamu
Gwe buli w’ogwa fuba kusituka

Kati nzijukiza ggwe eyebase na buli eyekubagiza
Muganda wange nkugamba situkirawo
Tulina omulimu omunene gwa kuzimba Uganda
Eryesiimisa abo abaliddawo
Bw’oba tosobola kudduka
Wakiri ng’otambula
Bw’oba tosobola kutambula
Wakiri ng’oyavula
Bw’oba tosobola kwavula
Wakiri nga wewalula
Naye kyonna kye kiri
Sigala ng’omoving-a
Tewali mirembe gye bagenda
Kuleetera waka ku soosi yo
Bw’oba toli mumativu osaanira
Okangule ku voice yo
Sigala ku course yo
Naye manya rights zo
Tolemwa kukolerera uganda
Ggwe zimba ggwanga lyo
Wadde nga boss wo
Teyali wa choice yo
Ggwe zannya part yo
Kuba lino ggwanga lyo

Topowa muganda wange
Ojja kumalako muganda wange
Topowa chali wange

(Visited 96 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

10 − 3 =

<