Siri Muyembe – Rema Namakula (2018)

Lyrics

Olese ndiizi mu lusuku abuulukukire eyo!
Naye manya, ebinyonyi bigenda kumubojjogola
Naawe lwaki weekunya? (Lwaki weekunya)
Oneekwasa ani bw‘ononsubwa?
Songa gye mpita, ndeka abasajja batega ngalo
Mbeggyako nga bangoberera
Mbakambuwalira bansekerera
Mu makubo emisana n’ekiro nga bampaana
Sirina gwe nali nsabye nnamba
Naye babula kuzimpandiikako
Sibuuza na gye basula naye ate bandagirira
Nze ndaba obongoota zuukuka
Bw‘oba onjagala kindage
Ogira osumagira balikuyita, ku litalaba
Yeah heh

Siri muyembe
Nti oba olinda kwengera olimba, ooh
Siri paapaali
Nti owanula mengevu mboona, hmm
Nze binemye ebibyo, aah ah
Nkulinze nkooye
Tonkaabiranga, nga bakukubye bbusu

Nze laavu yantabula eri esesa
Gw’oyagala aba agayaala
Hmm, nga gwotamatira ye akukaabira
Bw’oyoya ekibumba awo waali
Tekimugaana kukuttira nte
Ne bwe wekaza n’omuvuma bambi
Ate y’eyenenya
Ekintu ky’olina okyakigaya
Olulivaawo nga wejjusa
Ng’owoza saamanya nali nina okwanguwa
Nze ndaba ovumbeera tumbuka
Oleme kwekuba ate gakonde
Nti gunsinze, gunsingidde ddala
Yeah heh

Mbiwulira nga bakulumiriza
Simanya bino, manya biri
Babijweteka nti era
Ndimu kasala luguudo
Nze ebyo tebindya manyi wolokoso
Teli magic ansika, guli mukwano
Gwe gwantuuka ewala
Tondeka mu mwala gwa bikemo
Mujjuvu, gujja kunserengesa
Olyoke onnenye nze onsalire omusango
So nga bambi gwe musobya
Okugalabanja nze nzenna
Gwe seka, oli byejjusa
Nga nfunye afaayo

Siri muyembe
Aah ahh
Eeh eeh
Nkooye nkooye
Nkooye, nkooye, nkooye
Siri paapaali
Nkooye
Nkooye
Siri muyembe

ALSO SEE;
Ekyama – Rema Namakula (2020) 

(Visited 52 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

one × four =

<