Obululu – Bobi Wine (2010)

Lyrics

Serious matter disA dedication to all dem leadersAnd the votersSensitization to avoid a bloody situationInna dis lovely nationListen to the edutainment
Dis a serious matterFi daughter, son and father and motherA serious matterFi all citizen, leader and voterWell then
Wabula I don’t knowWhat is wrong with my peopleKuba entalo zisusse!Especially mu kiseera nga kinoEkirimu okulonda obukyayi busukka!
That’s why nakubye kano akayimba kabasomeseNti empalana z’ebyokulonda zaadibaN’obutawagira kw’omu tebuba bulabeOlwo eggwanga lwe lijja okula
Sso, bwe kuba kulonda tugende tulonde nayeObululu tebutwawulaTuve mu kuyomba olw’abo abeesimbawoObululu tebutwawulaFfe, tuba tuyombagana nga bo bassa kimuObululu tebutwawulaEby’okulonda biggwa naye ate ffe tusigalawoObululu tebutwawula
Wano Kabaya yakuba mukazi we katono amutugeNaye nga byava ku kampeyini za ba kkansalaMukwano gwa Kabaya yeesimbawoNaye nga ne mukazi we naye awagira mulalaKabaya olwakimanya, n’acankalanaOkumaliriza nga beekutte beekubye
Ono kwata oluyi, nze Kabaya ndekaEra Landlord y’eyabataasa, wulira!Ku mirimu abakozi bayisibwa bubiBw’aba tawagira muntu omu ne boss weKu kyalo okulonda olubalukawoFamire zikutukamu n’owulira enjawukanaBangi twabalabako nga baali ba mukwanoKati ne bwe beesisinkana tebebbongakoJjukira eby’e Kenya ku Kibaki ne OdingaWano saagala biraba
Kati bwe kuba kulonda tugende tulonde nayeObululu tebutwawulaTuve mu kuyomba olw’abo abeesimbawoObululu tebutwawulaFfe, tuba tuyombagana nga bo bassa kimuObululu tebutwawulaEby’okulonda biggwa naye ate ffe tusigalawoObululu tebutwawula
Well democracy is all we ever wantedSo we must never take it for grantedRemember, election violenceIs a symbol of backwardness
Dis a serious matterFi daughter, son and father and motherA serious matterFi all citizen, leader and voterWatch this!
Kati eno verse ka ngiweereze abakulembezeNgiweereze ne kw’abo abeesimbawoBwoba wasalawo ne weesimbawoKitegeeza olina ku magezi agatusingakoTodda ku katuuti kuvuma b’ovuganyaWabula tutabbire, tumatire tusalewoJjukira bye mukola naffe bye tukolaMmwe bwe muneneÅ‹anaEno muliro gwe mukuma
Kikugasa ki nga gwe omuliro ogukumye?Ate n’oleka nga ffe abalonzi tuttiÅ‹ana?Twagala Uganda yaffe mmwe mugikuzeNga mutugatta temutwawula
Sso, bwe kuba kulonda tugende tulonde nayeObululu tebutwawulaTuve mu kuyomba olw’abo abeesimbawoObululu tebutwawulaFfe, tuba tuyombagana nga bo bassa kimuObululu tebutwawulaEby’okulonda biggwa naye ate ffe tusigalawoObululu tebutwawula
Nze deemu wange awagira mulalaAte nange mpagira mulalaObululu tebutwawulaNaye ate bwe bituuka mu makaObululu budda ku bbaliObululu tebutwawula
Ne taata wange awagira mulalaNe maama awagira mulalaObululu tebutwawulaNaye ate bwe bituuka mu makaObululu budda ku bbaliObululu tebutwawulaMukwano gwange awagira mulalaAte nange mpagira mulalaObululu tebutwawulaBaasi!!!
(Visited 69 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

5 × 5 =

<