Maama Wange – Dr. Jose Chameleone & Emperor Orlandoh (2004)

Lyrics

Maama yo
Nani wuyo?
Orlando, Chameleone
Le le maama yo
Mummy ani?
Orlando, Chameleone

Mummio, mummio, mummy wange
Maama mummio
Mummio, mummio, mummy wange
Maama maama mummio yo yo
Mummio, mummio, mummy wange
Maama yo
Mummio, mummio, mummy wange
Eh eeh!

Chameleone
Bambi gyali myezi mwenda
Nga maama alindirira
Nga bulijjo asaba essaala
Kuba yali tamanyi kiddirira
Abamu bazaala abaana
Ate ne babalekulira
Abamu bakikola lwa kwagala
Bambi abalala Mungu y’atwala

Both
Owange ka muwenga (eh)
Ye maama wange (maama wange)
Asaanidde afune (eh)
Ye maama wange (maama wange oyo)
Maama ka muwenga (eh)
Ye maama wange (maama wange)
Asaanidde afune (eh)
Muzadde wange (muzadde wange oyo)

Orlando
Agannyabo ndayira ka muwe nze
Eyalera n’ayonsa nga ndi bbujje
Nfunantono, n’afissa akasente
N’aweerera nze omulungi gwe musiimye
Nasobyanga n’ampita, mwana wange
Ky’okoze tokiddira ate
Nange we ntuuse mumpagidde
Kanfube mummy musanyuse eeh

Both
Owange ka muwenga (eh)
Ye maama wange (maama wange)
Asaanidde afune (eh)
Ye maama wange (maama wange oyo)
Maama ka muwenga (eh)
Ye maama wange (maama wange)
Asaanidde afune (eh)
Muzadde wange (muzadde wange oyo)

Chameleone
Bangi mu mawofiisi basiba mataayi
Nga bambi maama we gomesi agisibisa lwayi
Ali mu bataayi maama atunda chai
Nkusaba Katonda abo obakube bbalaayi
Ovvoola otya maama eyayigiriza?
Konna k’ofunyeewo fuba okumuddiza
N’ewa Mungu olibulwayo ne ky’owoza
Ng’okodowalira nnyabo oyo eyakukuza

Both
Owange ka muwenga (eh)
Ye maama wange (maama wange)
Asaanidde afune (eh)
Ye maama wange (maama wange oyo)
Maama ka muwenga (eh)
Ye maama wange (maama wange)
Asaanidde afune (eh)
Muzadde wange (muzadde wange oyo)

Orlando
Ndeese busuuti ziizo mwenda
Ente enzungu onywenga ku tuta
Radio kw’onompuliranga
Ttivvi kw’onondabiranga
Tractor eneerimanga ewaka
Ki nayindo bakisime enkya
Owone olugendo olw’emugga
Nange gyendi nfune emikisa

Both
Owange ka muwenga (eh)
Ye maama wange (maama wange)
Asaanidde afune (eh)
Ye maama wange (maama wange oyo)
Maama ka muwenga (eh)
Ye maama wange (maama wange)
Asaanidde afune (eh)
Muzadde wange (muzadde wange oyo)

Both
Siyinza kwerabira bwe twabonaabona
Nali ndwala nnyo nga tomanyi oba ndiwona
Ng’osula otudde olw’ebbujje lyo
Kkumi na bbiri e Mulago oli ew’omusawo
Tewakoma okwo tewansuza njala
Wankolera bingi Katonda alisasula
Weebale nnyo bayiro n’olupapula
Etuyambye nnyo okuyiiya ne tubacamula

Both
Owange ka muwenga (eh)
Ye maama wange (maama wange)
Asaanidde afune (eh)
Ye maama wange (maama wange oyo)
Maama ka muwenga (eh)
Ye maama wange (maama wange)
Asaanidde afune (eh)
Muzadde wange (muzadde wange oyo)

(Visited 56 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

1 × 1 =

<