Katupakase – Dr. Jose Chameleone (2007)

Lyrics

Verse 1
Katupakase, anti lupiya ndaba ne gyetuvudde wala
Kyetulumiririrwa bitone mwekyo mwe bwtuyimbira ubayimbire ebizimba
Atenga tukolelela gwanga Uganda abaliba abalamu mutusomeko mu birirangwa
Tudaaga na dunia, nga tuzaaye amabujje gaffe tegalya amagumba
Tudaaga na dunia, nga tuzaaye amabujje gaffe tegabulwa obutuuliro
Baganda bange tukole namanyi tukolwe obutaweera ebyokunyooma emirimu bya kileela
Tukole namanyi obutaweela ebyokunyoma emirimu byakileela

Chorus
Tupatikanira kuba bulungi netufubba ne tufungiza okuba obulungi
Netutoba olwokuba amabujje netufuba tuzimbe egwanga elyenkya
Tukola misana na kiro ebitone byotuwadde ddunda tubikuume
Netufubba nyo tufunne essanyu munsi dunia gyegenda twetegekere nze nawe noyo nooli

Verse 2
Ensi yensi nebyensi byansi tusanidde tubele bagumu
Tugiryako makoola nolwekyo tusanidde tukwatire wamu
Bangi bendabye twali ba mukwano wenjogerera tweyawulamu
Byanfuna no ate banange ngaate lupiya ye kazalabulwa
Obuvunaanyizibwa buli muntu alina ntoko
Bwodda mupokopoko obudde bukuyitako
Alina naatalina fenna tukeera kuyigga Dr.Nsimbi tumukwateko
Atere ajjanjabe obulamu bwabakyala baffe nabaana baffe beyagaleko
Ekyono kyekiteganya nze nawe noono nooli nga tumunoonya entakira

Repeat chorus

Verse 3
Kyaalangibwa mulusuku eden atakole taalire omusajja kuntuuyo ze
Kwonolya kwonosula oyambe ne bakadde bo amabujje gasome ate ogategekere
Teri….alinywa ttuzi twabule,ngatamazze kulembeka
Nabagagga betulaba betwegomba buli lukedde, baayita mukupatikana
Obuvunaanyizibwa buli muntu alina ntoko
Bwodda mupokopoko obudde bukuyitako
Alina naatalina fenna tukeera kuyigga Dr.money money tumukwateko
Atere ajjanjabe obulamu bwabakyala baffe nabaana baffe beyagaleko
Ekyono kyekiteganya nze nawe noono nooli nga tumunoonya entakira

Repeat Chorus till end

(Visited 71 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

one × 1 =

<