Ebibuuzo – Bobi Wine (2007)

Lyrics

Well this is Bobi Wine bringing a prophecy to you
Okubajjukiza kye mulina okujjukira
Naye nga temwagala kujjukira
Gando (die!)
This is no joking
A revelation cycle we ah fi born to
Everyday di weak man
Oba ebyawandiikibwa by’ebituukirira!
Oba ensi y’ekyukirira!
Gando

Ne bwe nnyimba nnyimba lwa kunoonya kamere
Naye nga bino bye nnyimba ssi bya masanyu
Mpulira obulumi obunkolokota ku mutima
Kko nze kansibe law nzije mbyatule
Ensi eno ekyuse nnyo bannange!
Naye Mukama alabika ng’eyatwetamwa
Bano abaana baffe be tuzadde balabye
Okusikira ekisi kino nga kimaze okutubira
N’abafuzi baffe abanditulaze ekkubo
Omulimu gwe baliko omukulu gwa kugabana nsi!
Bannamadiini, Katonda be yali yeesiga
Babbira mu linnya lya Katonda!

Oh what a mishap this?
We have in our community?
Buli kimu kya bbeeyi kuva ku kibiriiti
N’ebizimbe bwe bigwa
Bwe bitta abantu
Ebibuuzo bingi nga answer ntono, ooh

Nga wakedde n’ogenda otunula mu city
Abakola ennyo bafuna katono ate mu bulumi!
Abakola ekitono be bafuna ekinene, why?
Nange kye neebuuza munnange
Abakadde b’envi kati be bawasa abawala abato
Abavubuka abato olwo ne tuwasa abakadde
Ne weebuuza ensonyi zadda wa ennaku zino?
Nange kye neebuuza munnange
Abantu kati be bagenda ku nsolo!
Ensolo ne zigenda ku bantu mubiraba mu mawulire
Abasajja kati baagala basajja bannaabwe
N’abakazi bwebatyo laba ebola n’ennyanja ekaze

Oh what a mishap this?
We have in our community?
Buli kimu kya bbeeyi kuva ku kibiriiti
N’ebizimbe bwe biggya
Bwe byokya abantu!
Ebibuuzo bingi nga answer ntono, ooh

Jah to know tell all dem Selassie I know
Coming to tell you say we’re
Living in the last days man
‘member the days of Sodom and Gomorrah
‘member the days of Noah (bwah boss)
So you see man marry man
In the name of God (abomination)
So preacher dem keep in Jesus’ name
Gando
Eh yeah

Laba kati abawala tebakyayagala na kuzaala
Bwe yeewaliriza n’azaala aba tayagala kuyonsa!
Embeera z’abantu zaakyuka ensonyi baazinaaba
Obwesigwa bwaggwawo kati buli omu
Amaaso agatwalira mu ngalo!
Wakyamanga awantu n’osaba
Amazzi ag’okunywa naye kati wa!
Twayitanga abantu jangu tulye
Naye kati tulya tweggalidde!
Abaana baazannyanga ssonko na dduuru
Naye kati bazannyisa mmundu na biso
Enkuba tekyatonnya bw’etonnya etwala mayumba
Luli tewaali UPE naye ate ng’abaana basomaasomako
Kati byonna weebiri naye ate tebakyasoma eh yeah
Twalyanga empuuta ne tuwuuta ne ka ssupu
Naye kati empuuta twasigalira
Giryako maliba na magumba
Ba nabbi ab’enjawulo beeyongedde
Tetumanyi omutuufu y’ani!
Ne Paapa talutumiddwa mwana
N’afulumya amateeka amapya
Abaana ku nguudo beeyongedde
Ne teargas yeyongedde
Poliisi ekwata abazadde ebamalawo

Oh what a mishap this?
We have in our community?
Buli kimu kya bbeeyi kuva ku kibiriiti
N’ebizimbe bwe bigwa
Bwe bitta abantu
Ebibuuzo bingi nnyo answer ntono, ooh

Ne bwe nnyimba nnyimba lwa kunoonya kamere
Naye nga bino bye nnyimbako ssi bya masanyu
Mpulira obulumi baana ba nnyabo mutima gwange
Kko nze ka neesowoleyo mbyatule
Naye ensi eno ekyuse nnyo bannange

N’abasoma badaagana ng’abataasoma!
(Naye ensi eno ekyuse nnyo bannange)
Olaba n’e Mulago e Makerere waggwayo eby’obwereere!
(Naye ensi eno ekyuse nnyo bannange)
Ffe emmwanyi ezaatuweereranga tezigula kati na nva!
(Naye ensi eno ekyuse nnyo bannange)
Kati Kampala ayokya naye mu byalo wakira okwokya
(Naye ensi eno ekyuse nnyo bannange)
Oooh, oooh
(Naye ensi eno ekyuse nnyo bannange)
Ooooh oooh
(Naye ensi eno ekyuse nnyo bannange)

(Visited 52 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

three × four =

<