Abalungi Balumya – Bobi Wine (2007)

About

Released: 2007
Album: Kansubize
Artist: Bobi Wine
Genre: Reggae

Lyrics

Bobi
Oh ooh
Oh ooh
This a true bad man love story
Running down from mi heart
And mi soul and spine
No one can fill her ditch again
And nobody can try to take me ah yeah

Nubian
Mazima nzudde ekituufu ekiri mu mukwano
Omukwano gunyuma
Gye gukoma okunyuma
Gye gukoma okukula, oh
Guno omukwano guluma
Gy’okoma okwagala omuntu n’omwewa mazima
Abalungi balumya
N’omwesiga n’omwagala
N’omutima n’ogumumalirako
Abalungi bayiwa

Bobi
Mazima ogenda n’osanga omuntu n’omwagala
Ng’amazima ye takulinako, madam
Gwe lw’akulaga omwenda lw’oggwamu amaanyi
Ng’owulira ensi ekomye, eh
Kati nze nange eyali wano
Omutima gwange gujjudde ebiwundu, ebitagambika
Nze nakaaba, nadaaga, najula n’okunywa obutwa
Bannange laavu eruma
Yes, we…
Got to believe me when a bad man swear
Me worry getting into a love affair
My memories will never die
Coz my love for you will never end
Yes, we…
Got to believe me when a bad man swear
Me worry getting into a love affair
My memories will never die
Coz my love for you will never end, ah

Tony Houls

Bobi
Naye nakwagala nnyo
Nga bw’oba omulwadde, nga ndwala
Nga buli ky’osaba n’ogamba leeta, nga ndeeta
Nakwagala nnyo ne nkuwa obulamu bwange
Nkizudde late nti abalungi, oh na…
Naye naswala nnyo
Era nalumwa nnyo
Gwe, lwe wandeka n’ogenda, oh gush
Ng’emmere ssikyalya
Ne chai ssikyanywa, kale
Abalungi mulumya

Nubian
Ye nga nakwagala
Omutima ne ngukuwa
Nga buli kadde ndowooza gwe, oh
Abalungi mulumya, maama!
Mazima mu butuufu nakwesiga
Omutima ne ngukuwa
Nga buli kadde ndowooza gwe, oh
Abalungi muyiwa, maama!

Omukwano gunyuma
Omukwano guluma
Abalungi balumya
Abalungi bayiwa

Bobi
Mazima ogenda n’osanga omuntu n’omwagala
Ng’amazima ye takulinako, madam
Gwe lw’akulaga omwenda lw’oggwamu amaanyi Ng’owulira ensi ekomye, eh
Kati nze nange eyali wano
Omutima gwange gujjudde ebitulituli, ebitagambika
Nze nakaaba nadaaga najula n’okunywa obutwa
Bannange laavu eruma, eh
Nze gwe nasiima omu bwati
Ye teyasiima
Ne njagala okwetuga, ah
Kati ebbanga ligenze nga tanva ku mutima
Bannange ye nga ndabye, eh
Nze gwe nasiima omu bwati
Ye teyasiima
Ne njagala okwetuga, ah
Kati emyaka gigenze nga tanzigwa ku mwoyo
Bannange ye nga ndabye

Nubian
Mazima nzudde ekituufu ekiri mu mukwano
Omukwano gunyuma
Gye gukoma okunyuma
Gye gukoma okukula, oh
Guno omukwano guluma
Gy’okoma okwagala omuntu n’omwewa mazima
Abalungi balumya
N’omwesiga n’omwagala
N’omutima n’ogumumalirako
Abalungi bayiwa

Bobi
Yes, we…
Got to believe me when a bad man swear
Me worry getting into a love affair
My memories will never die
Coz my love for you will never end
Yes, we…
Got to believe me when a bad man swear
Me worry getting into a love affair
My memories will never die
Coz my love for you will never end

(Visited 50 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

five × four =

<