Sili Mujjawo – Dr. Jose Chameleone (2017)

Lyrics

Let me reach them
Our community me teach them
Let me teach them
Muleke message to reach them
Anyway
Crouch again

Eyatutonda yatugabira bulamu
Tukole bye tusobola nga tukyali balamu
Teri kijja kulema nga tuyimiridde mu bumu
Nga tuli wamu
Naye
Yegeyege Uganda gwe tuliko
Twegyevuna gyevu gyevuna
Mitima gy’abantu beekyawa
Twefitina fiti fitina
Bannayuganda lwaki twekyaawa
Twegyevuna gyevu gyevuna
Naye nga lwaki abatondebwa obumu tuwalaŋŋana
Ng’ate tukulaakulanya Uganda?
Nga lwaki olaba Crouch ayiseemu
Munnange n’omukomerera ne propaganda
Lwaki Sunday school temuli basomi aboluganda?
Omusumba ye abeerayo
Basomi ne babulayo
N’ayimbamu n’addayo
Bw’osoma ebibeera mu mawulire
Oh oh oh tulagawa?
Twalibuuziza okikola otya?
N’oli akikola atya?
Ne tuyigirako ffena ne tufuna
Abandibuuziza obifuna otya?
Bo bafuna obuggya
Uganda we need a remedy

Naye
Lwaki Uganda ayitamu ffe gwe tufeebya?
(Nze siri muggya wo)
Agwanidde ekitiibwa oli bw’aba mukulu ffe gwe tunyooma!
(Nze siri muggya wo)
Abeekolera bannayuganda ffe be tuzalawa
(Nze siri muggya wo)
Minzaani nagibuukako ne ngirekako basinga
(Nze siri muggya wo)
Mission mission For God and My Country Uganda
(Nze siri muggya wo)

Kaneebaze Mukama eyantonda
Nantonera ekitone ekisomesa ebinyuma
Yampa n’engabo erinkuuma ng’abalabe bazze
Mbalabe ate oluvannyuma
Olimuwa ki Mukama eyakwagala bw’otyo wamuwa ki?
Onamuwa ki akukuumye ng’abalabe balaba bafa ensaali?
Buli lunaku agemulira bipya hee
Balumwa abalabe ne bafitina (naye)
Bakkongojja ate ne bakongoka
Bonna abalinamu fitina ne bakiikira.
Baalibuuziza okikola otya?
N’oli akikola atya?
Ne tuyigirako ffena ne tufuna
Abandibuuziza obifuna otya?
Bo bafuna obuggya
Uganda we need a remedy

Musululu moja ka mbabuulire
Mwampa busawo nzize mbavumule
Ki boda?
Awalana ow’emmotoka nga naye gy’akolerera
Ddunda jj’otusaasire
Ki Friday?
Bagiteekako kawunyemu tuwunyemu
Mutuleke tugibandule
Lwaki tetweyagaliza
Ayitamu gwe tufitina mubaleke gababugume
Twalibuuziza okikola otya?
N’oli akikola atya?
Ne tuyigirako ffena ne tufuna
Abandibuuziza obifuna otya?
Bo bafuna obuggya
Uganda we need a remedy

(Visited 42 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

sixteen − thirteen =

<