Ensonga nnyingi ezindeetera okwenyumiriza
Mu by’obuwangwa bye nsibukamu
Nsibuka mu bwakabaka bwa Buganda
Ewa Ssaabasajja Muwenda Mutebi
Eyo gy’osanga abantu ab’empisa ennungi
Abaaniriza, kaabeere muyise
Kyova olaba buli ggwanga tubeera nalyo
Tukola nabo, tubonga nabo
Ebitusanyusa tuzinira wamu
Sso nga n’ebitunyiga nabyo tukaabira wamu
Kabaka waffe ke kabonero akalaga
Nti Katonda ne Buganda omwoyo gumu bweguti
Nnyimbira Kabaka wange
Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo
Temunnenya kuyimba ka nnyimbe
Ate oba omwana wa Muteesa alamula, eh
Bannange nnyimbira Kabaka wange
Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo
Temunnenya kuvimba ka nvimbe
Ate oba omwana wa Muteesa alamula, oh
N’ayimba ntya nze ne nnema okutenda
Kabaka wa Buganda amagero?
Lw’asiimye n’abonekako gyetuli ne tusanyuka
Fenna kuva ku muto ppaka ku mukadde
N’oluusi tumutimba mu bifaananyi ne ku mamotoka
Atamulina taba ku mulembe
Olwo ne tusagambiza kubanga omwana wa Muteesa
Luwangula atudde alamula, oh
Omusaayi gw’alina gwe gwa Ssekabaka Muteesa
Eyasookera ddala
Oli eyawandiika ebbaluwa eyayita abazungu
Okuleeta, buli kimu kye tulabako
Era y’ebbaluwa eyo eya Muteesa omuberyeberye
Eyajuna Buganda ne Uganda yonna
Kati ffe abazzukulu b’abo abaabisookamu bwe tweyagala
Tegubeera musango
Era kye tuva tufuba okulaba nti ekitiibwa kya Buganda
Kisigalawo emyaka bukadde
Kati buli mwana wa Buganda eyo gy’otambulira
Manya nti okiikirira Buganda yattu
Jjukira ba jajjaffe, bali abaatusookawo
Baayagalanga nnyo ensi yaabwe
Kati nange
Nnyimbira Kabaka wange
Nnyimbira Kabaka wange
Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo
Gyali eyo e Mmengo
Temunnenya kuyimba ka nnyimbe
Ate oba omwana wa Muteesa alamula, eh
Bannange nnyimbira Kabaka wange
Nnyimbira Kabaka wange
Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo
Gyali bba ffe alamula
Temunnenya kuvimba ka nvimbe
Ate oba omwana wa Muteesa alamula, oh
Kati manya ennono n’empisa ez’eggwanga lyo
Era n’abaana b’olina obayigirize
Olwo tukuume eby’obuwangwa bye twasangawo
Era n’ebyayonooneka tubitereeze
Ate tukole na maanyi tuzimbe Buganda empya
Eryesiimisa abo abaliddawo
Kati bw’oba oli eyo, ng’oli mwana wa Buganda
Osaanye omanye
Oba wano oba ebweru
Omwoyo gwa Buganda, sigala nagwo
N’abaana mubabuulire
Nti ekitiibwa kya Buganda, kyava dda
Era buli omu ekika kye kiba n’obuvunaanyizibwa
N’omulimu gwe kikola kuva dda
Ate ku mulembe guno omutebi twesiimye nnyo
Kubanga Beene yagukwasa ffe bavubuka
Era ffe bwe tuba tukola, ekituwa essanyu
Kwe kumanya nti Omutanda waffe gyali aluŋŋamye
Nnyimbira Kabaka wange
Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo
Gyali atudde e Mmengo
Temunnenya kuyimba ka nnyimbe
Mundeke neetale
Ate oba omwana wa Muteesa alamula, eh
Bannange nnyimbira Kabaka wange
Nnyimbira Kabaka wange
Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo
Mundeke neejage
Temunnenya kuvimba ka nvimbe
Ate oba omwana wa Muteesa alamula, oh
Obuganda buladde
Nnyimbira Kabaka wange
Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo
Eh gyali Kabaka wange
Temunnenya kuyimba ka nnyimbe
Ate oba omwana wa Muteesa alamula, eh
Kannyimbire Omutanda wange
Bannange nnyimbira Kabaka wange
Kannyimbire ku Kabaka wange
Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo
Nnyimbire Omutanda wange
Temunnenya kuvimba ka nvimbe
Ate oba omwana wa Muteesa alamula