Nsaba Twogere – Bobi Wine (2017)

Lyrics

Bobi
Boo!
Waliyo eyo bangi abakwegwanyiza
Tebamanyi nti nze akumatira
I wish my babe could come around
Chaaa!

Nubian
Nkimanyi olumwa, muli mutima
Wadde nga, wasalawo okwegumya
Nange nnumwa, ennaku enzita
Era nze, mpulira sirina mirembe
Wadde wanyiiga, nsaba twogere
Tumalewo ebyasoba
Nange nanyiiga, naye twogere
Tumalewo ebyasoba

Bobi
Nananimbo
Ne bw’olaba omubiri gunkogganye
Nze munno gye ntudde sisula mirembe
Bandaba kutambula
Nga neeyogeza nzekka mu kkubo
Nasigazaamu kasala luguudo
Emikwano gimbuuza oba nga gwe abireeta?
Nange ne mbagamba nakuvaako
Kumbe bya kulimba
Naye nga gwe abireeta
Bwe wasalawo okugenda
Amazima nze oncankalannyizza
Ntuuse na kuwenga
Nalowooza nti byali bya lumu
Kale bye twayombamu
Naye wanyiiga nnyo baby naawe olimba
Nkusaba nsasira mukwano
Tuddemu omukwano
Nkumissinga nnyo ssi bya kulimba

Nubian
Wadde wanyiiga, nsaba twogere
Tumalewo ebyasoba
Nange nanyiiga, naye twogere
Tumalewo ebyasoba
Nkimanyi olumwa, muli mutima
Wadde nga, wasalawo okwegumya
Nange nnumwa, ennaku enzita
Era nze, mpulira sirina mirembe
Wadde wanyiiga, nsaba twogere
Tumalewo ebyasoba
Nange nanyiiga, naye twogere
Tumalewo ebyasoba

Both
Baby nayogedde ne muganda wo
Naye nga ne muganda wo
By’ayogera naye alinga eyanyiiga
Ne ntuuka n’okwenenya
Kale ne bye saakola
Kati baby ndaba ng’olinga eyalimba
Bino kati by’olaba ngiye olutiko
Nsiiba mu kutya
Era nze munno wo ninga eyawunga
Wansuubiza nti olinjagala
Nange ne nkusuubiza for a lifetime
Twesuubiza nti tuliyagana
Era ky’alina kuba for a lifetime
Naye wamala n’onimba
Wamala n’onkyawa
Era omutima gunnuma
Bannange zinsanze

Nubian
Nkimanyi olumwa, muli mutima
Wadde nga, wasalawo okwegumya
Nange nnumwa, ennaku enzita
Era nze, mpulira sirina mirembe
Wadde wanyiiga, nsaba twogere
Tumalewo ebyasoba
Nange nanyiiga, naye twogere
Tumalewo ebyasoba

Both
Amazima ntunuulira omuntu eyali owange
Nga konna konna ke nfunyewo
Bwe tulya ezange
Nga ne bwe mbeera mu Ghetto
Nga ne yala enkuba
Naye nga gwe wooli mba mugumu
Kuba yeggwe wange
Naye gwe wampemukira
Mazima n’ongyabulira
Era nze nsula na bubi gwe yitako ewange
Ebyo bye bagamba
Mukwano ebyankyaya
Byonna ebyo byali bya bulimba komawo ewange
Kale oba nakola nsobi kati baby nteredde
Sikyalina na wengya dunia ennemeredde
Baby ennaku ennuma
Empewo enkuba ssikyetegeera
Simanyi mu mazima oba gwe gy’oli oteredde!
Wansuubiza nti olinjagala
Nange ne nkusuubiza for a lifetime

(Visited 141 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

one × 5 =

<