Nabweteme – Dr. Hilderman (2020)

Lyrics

It’s been a longtime
Kiya

Dear Nabweteme
Kiya, Kiya
Eyali owange ne nkulaga abange
Kiya
Dear Nabweteme
Kiya, Kiya
Wayonka kwagalwa, tewayonka kwagala
Kiya
Dear Nabweteme eh
Kiya, Kiya
Al Magic Studios, Hilder Doctor
Kiya
Back again
Kiya, Kiya
BIT are you ready fi mi now?
Boom

Luno nali nalwewala
Ba Zunguli be bansaba okulukuba
Luno nali nalwewala
Kiyaga lwa kusirika
Naye ate waliwo akutakula
Get me a pen and a paper
Ompe n’omubaka gwe ntuma eka
Bw’otuuka tokiika
Abaana b’eka bagamba kati tukiika
Nze gwe nayiirawo omubiri!
Kati ssebo ayagala na kutwala mubiri
Why why?
Munnange bweguli, bwekiri
Mwana w’eka bweguli

Baayonka kuwagirwa
Munnange tebawagira (tebawagira)
Ate ne bw’omuwagira (tebamatira)
Eky’ennaku era tebamatira (tebamatira)
Nze gwe nawaananga
Gwe nawaananga
Nabweteme ono gwe nawaananga
Nsuubira kumpaana andiko avunza
Yiiyi Nabweteme!

Nakugamba tommenya omutima
Ne nkuwa obubaka
Ne nninda obubaka
Tewatuusa bubaka
Teyatuusa bubaka
Bwe nakugambako wayiwa maziga
Akaaba buziga
Nali mmanyi obakira
Eyagula omutwe natuusa kikira
Luno jjuuzi watusiibula
Flag ne tutandika okuzambusa
Ne tutandika okuzambusa
Tubeera tumaze okuzisiba
Ne kirinnya ekitambo ky’obutakkuta
Nabweteme yiii!

Baayonka kuwagirwa
Munnange tebawagira (tebawagira)
Ate ne bw’omuwagira (tebamatira)
Eky’ennaku era tebamatira (tebamatira)
Nze gwe nawaananga
Gwe nawaananga
Nabweteme ono gwe nawaananga
Nsuubira kumpaana andiko avunza
(Andiko avunza)
Yiii Nabweteme!

Kati ampita na kiyenje
Ampita na kiyenje
Mbu sirina ssente
Mbu sirina ssente
Abatalina ssente nnyabo
Watutuuma biyenje
Kati kankunge ebiyenje
Twerondemu ssaabayenje
Bwe tumala tudde mu biteete
Tudde mu biteete he, he!
Ankangakanga n’obumundu
Ankangakanga n’obumundu
Leka muloope ne katundu
Leka muloope ne katundu
Maama Maria yankuuma mungu
Eh eh better know
Maama Maria
Ankangakanga n’obumundu
Leka muloope ne katundu
Nze Maama Maria yankuuma mungu
Eh eh better know

Nakuwaana n’obuyimba ne nkuba
Nga mmanyi essowaani bbiri zikukkusa
Ngoba omutambo gw’obutakkuta
Mwalya biki abatakkuta?
Kiya
Ngoba ekigambo ky’omulugube
Kiya, Kiya
Mwalya biki abatakkuta?
Kiya
Nze nkooye n’esiridde
Kiya, Kiya
Leka ngifumbe emmere nkooye n’esiridde
Kiya
Ngoba omutambo gw’obutakkuta
Kiya, Kiya
Mwalya biki abatakkuta?
Kiya
Nze nkooye n’esiridde
Kiya, Kiya
Leka ngifumbe Kiyaga nkooye n’esiridde, eeh wo
Ngoba ekitambo ky’obutakkuta
Ngoba ekitambo ky’omulugube
Ekitambo ky’obutakkuta
Mwalya biki abatakkuta?
Nze nkooye n’esiridde
Ekitambo ky’obutakkuta
Leka ngifumbe Hilder nkooye n’esiridde
Ngoba ekitambo ky’obutakkuta

(Visited 62 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

12 + 6 =

<