Mwekume – Bobi Wine Ft. Weatherman (2004)

Lyrics

Sikiribala biribala, biribala, biribala bo
Oh gush, sho
One Bobi Wine with a man in a row
Blow that rude bwoy

Both
Kye mbasaba mwekuume
Wadde obulamu bunyuma
Kimanye bumpi
Asiika omukono obulamu tassa
Okalya dda kadda dda kiriba edda
Mbasaba kimu twekuume
Wadde obulamu bunyuma
Kimanye bumpi nnyo
Asiika obulamu omukono tassa
Okalya dda kadda dda kiriba edda

Bobi
Listen now
Omuvubuka omulabufu y’abeera steady
Nga buli w’abeera n’akapiira kaba ku cover
Tayiika malusu kubanga alabye ka mini
Taloba, kuba amanyi embeera ya city
Gwe n’ogwira ono
N’ogwira oli
N’ogwira n’oyo ate nga toyambala
Kati mbabuusa mmwe baganda bange
Okukyakala temubula bikwera
Okudigida eryo ddembe lyaffe
Mubbaale obudde kkejenge

Weatherman
Nga naye temuloba
Mujjukirenga essaawa eri
Ey’okukukaka nti lya ku kantu
Man, nga k’olya k’ozza

Bobi
Oh what a bon, what a bon, what a bon
Coulda dat wah go be mi yut
What your mama gonna think
When you die so young
You don’t know inna go make a combination
So rise up your brain and don’t be a fool (ooh)

Both
Kye mbasaba mwekuume
Wadde obulamu bunyuma
Kimanye bumpi
Asiika omukono obulamu tassa
Okalya dda kadda dda kiriba edda
Mbasaba kimu twekuume
Wadde obulamu bunyuma
Kimanye bumpi nnyo
Asiika obulamu omukono tassa
Okalya dda kadda dda kiriba edda

Both
Listen up now
Toloba bwoba ng’ogenze mu kudigida
Ekyo mutaayi kijjukirenga
Bangi bannaffe batufuddeko bwebatyo
Kye nva nze nkozesa ka Lifeguard
Waliyo essaawa ey’okuwaluka nga tokoma
Embuulirire tefa yonna
Bw’olaba anyirira n’ogamba toyambale
Kimanye nti bunnya bwe weesimira
Gye mukoma okwenyiga gye lukoma okubanyiga
Wenna n’okenena ng’olinga gwe baaloga
Gye mukoma okulya emitwe
Gye lukoma obbamwa emitwe
Enviiri ne zikongoka ng’enkoko enkongole
Abo abakazi b’olaba bafu
Leka beesiga bonna balwadde bayi (oh gush)
K’abe musajja tomwesiga be basinga obufu
Ajje ng’ayambadde (ayi, ayi)

Both
Kye mbasaba mwekuume
Wadde obulamu bunyuma
Kimanye bumpi
Asiika omukono obulamu tassa
Okalya dda kadda dda kiriba edda
Mbasaba kimu twekuume
Wadde obulamu bunyuma
Kimanye bumpi nnyo
Asiika obulamu omukono tassa
Okalya dda kadda dda kiriba edda

Weatherman
Nze, n’abadde neebase ne ndoota eky’ennyanja
Nga nkirya kiramba ssimeketa na magumba
Ne nzijukira kiba ki kalusomba
Kyokka nga neerabiddeyo kalimpitawa
Byennyanja bibyo mubirye teri aluleeta
Naye ebitwe mubireke bikambagga
Bakusiba ssebo ppaka Mulago
Kyokka nga bya nsi era tubireka mabega
Naye ekyo tekitugaana kusala ndongo
Obulamu bunyuma, bulya ku mazina
Naye lwe kiba kizze teweerabira
Lifeguard eriwo kukikutaasa

Both
Toloba bwoba ng’ogenze mu kudigida
Ekyo mutaayi kijjukirenga
Bangi bannaffe batufuddeko bwebatyo
Kye nva nze nkozesa ka Lifeguard
Waliyo essaawa ey’okuwaluka nga tokoma
Embuulirire tefa yonna
Bw’olaba anyirira n’ogamba toyambale
Kimanye nti bunnya bwe weesimira
Gye mukoma okwenyiga gye lukoma okubanyiga
Wenna n’okenena ng’olinga gwe baaloga
Gye mukoma okulya emitwe
Gye lukoma obbamwa emitwe
Enviiri ne zikongoka ng’enkoko enkongole
Labayo, abo abakazi b’olaba bafu
Leka beesiga bonna balwadde bayi (oh gush)
K’abe musajja tomwesiga be basinga obufu
Ajje ng’ayambadde (ayi)

Both
Toloba bwoba ng’ogenze mu kudigida
Ekyo mutaayi kijjukirenga
Bangi bannaffe batufuddeko bwebatyo
Kye nva nze nkozesa ka Lifeguard
Waliyo essaawa ey’okuwaluka nga tokoma
Embuulirire tefa yonna
Bw’olaba anyirira n’ogamba toyambale
Kimanye nti bunnya bwe weesimira
Gye mukoma okwenyiga gye lukoma okubanyiga
Wenna n’okenena ng’olinga gwe baaloga
Gye mukoma okulya emitwe
Gye lukoma obbamwa emitwe
Enviiri ne zikongoka ng’enkoko enkongole
Labayo, abo abakazi b’olaba bafu
Leka beesiga bonna balwadde bayi (oh gush)
K’abe musajja tomwesiga be basinga obufu
Ajje ng’ayambadde (ayi)

(Visited 114 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

five × 3 =

<