Kasukali Keeko – Bobi Wine (2019)

Lyrics

Now this one is not going to play on yo radio or tv yo but you can share it and spread the vibe..
yaaa….kyeekyo speed yeeyo amanyi geego kyeekyo
twabitandika mpola muntandikwa ng’obulamu bwambiriggo
yengoyogera otya nti nva mu ghetto gwe noyita omuntu
kyetwava twesowolayo netweyogerako ng’obulumi bwansuso
abantu bakubwa basibwa n’abandi batibwa, naye tetwapowa
twaguma netugusa ensonga bwenjogera nti ono ayogera
ndowoza kati ojilaba ensonga
sukaali keeko nze simanyi oba tukongeremu (heee)
speed yeeyo nze simanyi oba tujongeremu (heeee)
sukaali keeko nze simanyi oba tukongeremu (heee)
amaanyi geego nze simanyi oba tugongeremu (heee)
lwaki kale omukulu talaba ebiri mu gwanga okutukyankalanya!
lwaki kale omukulu takola nga bano abaata entebe mu ddembe
nze Ngamba omukulu agenda wadde nga yekaaza alimba
oyo nze mumanyi entunula omukulu atidde agenda
eyali anzalawa wuyo mpola mpola nga atandise okuyeba
ago g’emaanyi g’abantu gw’alyeyo yongeza omuliro
olaba naabali tebakiriza bamala nabo nebakiriza
kankati owekikofira atya gwe owakakofira
sukaali keeko nze simanyi oba tukongeremu (heeee)
speed yeeyo nze simanyi oba tujongeremu (heeee)
sukaali keeko nze simanyi oba tukongeremu (heeee)
amaanyi geego nze simanyi oba tugongeremu (heeee)
endongo njikubye ekimala kankati mwogere kunsoonga
omubanda omulabye ekimala kankati kambawe Kyagulanyi
abaana bazzibodaboda speed eri etya? (heeee)
abaana b’ewakiseeka sukaali ali atya? (heeee)
abaziyunivasite n’abaana ba ghetto, abe Kyadondo, n’abomubyalo (heee)
abomu diaspora munyweze ekintu (heee) abakyala kiri kitya? (heee)
kasuukali tukongeremu (heee), sukaali keeko nze simanyi oba tukongeremu (heee)
speed yeeyo nze simanyi oba tujongeremu (heee)
amaanyi geego nze simanyi oba tugongeremu (heeee)
sukaali keeko nze simanyi oba tukongeremu (heee)

(Visited 9 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

16 + 18 =

<