Amazima ddala nkimanyi nti Mukama omanyi Bwentunula gyewanzigya, abalala gyewabaleka Ondwanila entalo abalabe zebaleeta Kale nebwebayimuka, nga Mukama wooli sitya Si nsonga, wadde nga silina maanyi Kuba Mukama atuula mu nze, oli wamanyi ssebo Si nsonga, wadde nga silina ssente Kuba gwe Katonda gwensiinza ensi yiyo eno
Kanyimbe, nyimuse elinya lyo Yesu Mukama, wotoli nze nandibadde ntya? Ne bino byona Mukama ebinuma Bitwaale, abalabe bange banzigyeko olukongoolo
Bwentunula amazima ndaba nti awatali gwe Mukama Ye nze nandibadde ntya? Enaku nandigizize wa? Nekweeka mu gwe, olwaazi olwaase Mukama mazima oli mwesigwa gw’omanyi ebyange Saasira obunafu bwange, amaziga ago genkukaabira Kuba mu maaso go kitange ndi mwaana ssebo Saasira ebyoonoono byange Mukama bwenkusobya Tohila busungu, tova ku ludda lwange
Kanyimbe, nyimuse elinya lyo Yesu Mukama, wotoli nze nandibadde ntya? Ne bino byona Mukama ebinuma Bitwaale, abalabe bange banzigyeko olukongoolo