Bayuda – Dr. Jose Chameleone (2008)

Lyrics

Bayuda tuyita nabo, ……..NaboAbalala tuseka nabo, ……… NaboOlwu0027ekisa tugabana nabo, …Nabo
Tubamanyi butabagamba.
Kiruma nga gwu0027oyita mukwano gwo ennaku yo agifudde essanyu, obadde omwesiga, abadde akweyuna, bambi buli lwu0027abadde mu nnaku.Kati lupiiya amusingidde omukwano,mubadde bataayi naye kati kacwano,ekinneewuunyisa, bannaffe abatusuuta, tebandibadde abo ate ne batutunda.Toggwamu ssuubi be yalyanga nabo ku mmeeza baamutunda abiri gokka aga feeza. Wulira bino…..
Butamanya waliwo abaatusookawo, nga tuzaaye waliwo abalibeerawo, ebitumalamu byo twabisangawo. Naye nno lulikya lumu byonna ne tubirekawo.Kiruma munnoowo nga yu0027akuvuddemu, banka yu0027ebyama byo ajaabuluddemu,bagendeko mpola abasinga be bamu.Ekinneewuunyusa, bannaffe abatusuuta tebandibadde abo ate ne batutunda,Toggwamu ssuubi, be yalyanganabo, ku mmeeza, bamutunda abiri gokka aga feeza. Wulira bino.
Tubenga benkanya abange bwe kisaana,twegenderezenga abangi abatuwaana, bennyini abatuwaana ate be batukiina,ne bwu0027okola amakula tebasiima, obulimba bubasingira omukwano. Mubadde bataayi kati kabwa na ngo, ekinneewuunyisa bannaffe abatusuuta tebandibadde abo ate ne batutunda,Toggwamu ssuubi, be yalyanga nabo ku mmeeza baamutunda abiri gokka aga feeza, wulira bino.
Tuyita naboooo, ne batutunda, tebaswaala, naye luliba olwo ne baswaala. Tuyita nabo, tugabana nabo, tuseka nabo, nate tulya nabo, tukola nabo, ne tubeera naboooo, naboo, naboo, naboo tulabye.
(Visited 79 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

20 − 7 =

<