Akatengo – Bobi Wine (2021)

Lyrics

Judgement to the bandit to kill our peopleSerwajja okwota akira nnyinimu entanamaWhy do you think you’re the firstAnd last to abuse rights?Nothing to fear but fear itselfAlright!
Twali mu Uganda yaffeBaatusanga tweyagalira kuno ne bajjaNe batusalako, bajja n’amagatto gaabweN’obusaati obwali buyulise ku migongoNe tubasembezaBaafera bakadde baffeNe tubeesiga ne tubakweka mu kapangaNe tubafiiriraBaalya ne lumonde waffeTwali bagagga be baamalawo ente zaffe
Babbye n’amataka gaffeNe gye twali twaziika abantu baffe bajjaNe babasendawoKati bawamba baana baffeBabatiisa nti buli ayogera wano amazimaAbeera wa kufaBabakoonye obulengeN’abamu babasse babasudde mu bitoogoBatusigamu katengoOkuggyawo bino naffe tubaddize katengo
Abaana ba wano temuba na katengoEkisibye enkyukakyuka ke katengoBatufuga bumbula lwa katengoNga be tutya ate be basingaOkubeera n’akatengo
Abantu ba kuno temuba na kutyaEkisibye enkyukakyuka kwe kutyaBatufuga bumbula lwa kutyaNga be tutya ate be basingaOkubeera n’akatengo
Baaleeta ne curfew ne tumugonderaNe bamukozesa okutubba n’okutukyunyaBajja ne mu bufunda ne batukyambuwaNg’amabbaala g’abagagga go mwattu gakola
Obucaali bwa wansi buba buggaleNga waggulu, bo ebyabwe biba bigguleLaba abaana ba boda bali ku ndereTebacacapa, yadde okufuna ku kamere
Bino biriwo lwa katengoBuno obusajja mwe tebutuzannyira ku bwongoBazadde baffe baabuweeka ku migongoNaye kati ssebo bwo bwabafuula abayungweWabula, njagala mukimanye tebutusobolaBulidde era bukkuse tebwesobolaAbo be mukubagana be basinga okutyaNebwotulisa balloon baweta ne batema
Abaana ba wano temuba na katengoEkisibye enkyukakyuka ke katengoBatufuga bumbula lwa katengoNga be tutya ate be basingaOkubeera n’akatengo
Well this is a special dedicationTo all the political prisoners‘Member, it’s a Dan Magic ProductionYou don’t knowOur nation is being mortgagedAnd is weThat’s being used as collateralSo ‘member that
Laba obuwumbi bwe beewolaOkulwanyisa obulwaddeBagula mamundu na teargasAte zo ssente ze beewozeBwe tuba ba kusasulaKiritwala myaka nga kinaanaGye tukoma okutiribiraGye bakoma okunyagululaKiri mu glassNti Uganda esobolebwaBwoba nga weebaseKati eno y’essaawa osisimukaKiri mu glassNti Uganda etundibwa
Abaana ba wano temuba na katengoEkisibye enkyukakyuka ke katengoBatufuga bumbula lwa katengoNga be tutya ate be basingaOkubeera n’akatengo
(Visited 123 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

3 × 2 =

<