Omulungi mpitideko eno Ng’ebyokwegumya mbikoye Nga ndi eyo binsobede Nkulinze okuva lwe wada Nga n’ekimuli kyewalera, kyawotoka kyagwawo da Gyendi, guntawanya Gwanfula omuzole Nga n’obusimu tobukwata Obuyimba obwo mpulira Obw’omukwano tunyiga Ku radiyo, mbuwereza Nga n’obunyonyi bwogera N’akachungwako kakula Kabulako ku kanula Ndi eno gumboyanya Gunfudde omuzole Guzijja eno gunziza eno
Gwe ate nze atali ku kyeeyo Nga ne ka soda kamala Ennyonta lwaki enzita eno Akujji bwekaba kokya tokalinda ku kawoza Eno ofuwa ko nga bwonywa Jangu baby wange Jangu tulira awo Mbeere awo ng’oli awo Obudde eno bwaterera Kiri ekyeya kyayiita Akakuba mwatu era katonya Ewiiki tewayita ne emu nga kyosimbye kimezze Ng’omukwano era gutinta Maama gumanja Gwagala gwe omulungi Jangu sembera eno Guluma eno
Abalenzi abo bolaba Bamanyi nyo okukugeya Gw’olinga wakayima Mu bufika ku kyegula Bwowa bano ku nkya naye Ate nze bwe bumpomera Jangu sweet wange Jangu va ku byabo Ebibyo, bibino eno Ndi eno baby wange Jangu eno ye ssawa Eno teriyo akutawa Jangu eno