Yo! This is for you
Maama, Papa
Ma brother Ma friend
Merry Christmas
Merry Christmas
Paddy
Oh maama, luli sajja
Nkusaba kisonyiwo
Naawe omanyi eno emirimu mingi,
Tuba mu kukazana
Nagezaako maama nfune akasente nzije
Naye kambula
Olwo ne ntya okujja mu bato bange
Nga nyanjala ngalo
Ku luno maama njizzeyizze ne ndeeta
Yadde katono nnyo
Ebbanga lye maze
Mbadde mbamissinga
Paddy
Christmas y’omwaka guno maama
Njagala kugirya naawe
Christmas y’omwaka guno taata
Njagala kugirya naawe
Christmas y’omwaka guno baganda bange
Nzize kugirya nammwe
Bobi
Hullo!, taata
Kansuubire oli bulungi
Ebbanga liweze nga sikulabako
Naye buli lwenkuba essimu
Nkugamba nzija mu December
Ne maama ye oba ali atya?
Buganda bwange obuto
Mbumissinga nnyo nnyo
Kati ku Christmas eno
Kkiriza nzije eyo
Tugumaleko nammwe omwaka
Bobi
Christmas y’omwaka guno taata
Njagala kugirya naawe
Tusabeko fenna ku Klezia e Kanoni
Njagala kugirya naawe
Christmas y’omwaka abaana b’e Gomba
Nzize kugirya nammwe
Tulabe fenna omupiira olweggulo
Njagala kugirya naawe
Christmas y’omwaka guno papa
Njagala kugirya naawe
Olwo tutuuleko fenna ku lujjuliro
Nzize kugirya nammwe
Both
Mugire twebaze Omutonzi
Luno olunaku lukulu
Ssi bangi abaalutuseeko
Kibi bwe weekubagiza
Gano amazaalibwa
Ye mulokozi atuzaaliddwa abange
Tugolokoke
Tugende mu masinzizo era tumusinzze
Kuba engalo, yimusa emikono
Yimba oluyimba, Halleluyah Hossana
Hossana, Hossana Hossana
Atuzaaliddwa abange
Halleluyah Hossana
Hossana Omulokozi oh oh
Halleluyah Hossana
Ono ye Mulokozi luno olunaku lukulu
Mugire tumusinze
Halleluyah Hossana
Abaana n’abakadde muyimuse emikono
Tusinze Omulokozi
Halleluyah Hossana
Hossana, Hossana
Halleluyah Hossana
Hossana, Halleluyah Hossana
Halleluyah Hossana
Both
Christmas y’omwaka guno maama
Njagala kugirya naawe
Christmas y’omwaka guno taata
Njagala kugirya naawe
Christmas y’omwaka abaana b’e Gomba
Nzize kugirya nammwe
Christmas y’omwaka guno baganda bange
Nzize kugirya nammwe
Bobi
Tony Houls ne Paddy obagambe
Siriiwo ŋenda kulya Christmas
Abaana bo ku Firebase bonna bonna bagambe
Siriiwo ŋenda kulya Christmas
Abatunzi b’emmere Maama Namu abagambe
Siriiwo ŋenda kulya Christmas
Abavuzi ba takisi Liyaadi babuuse
Siriiwo ŋenda kulya Christmas
N’aba Boda Puff J abagambe
Siriiwo ŋenda kulya Christmas
Abaana bo ku Kaleerwe Mude obabuuse
Siriiwo ŋenda kulya Christmas
Siriiwo ŋenda kulya Christmas