Tulonde – Bobi Wine (2021)

Lyrics

Country people
Thirty five years of gun rule
Are about to come to an end
Remember it is your vote
That is going to deliver you
The change that you so badly need
This one is a clarion call to everybody
Above eighteen and registered to vote

Okuva mu November, batusalako
Baatulumba na ku nomination
Aba Special Force, Military ne Police
Bonna baajjira mu zi formation
Olwo ne tutandika, olugendo oluwanvu
Nga lwa teargas na masasi
Fenna nga generation
Nga tuli ku mission
Ya kununula our nation
Oh what a shame!
Electoral Commission don’t treat us the same
While others campaign
The opposition in jail they detain
Many comrades are dead
Nubian, many others in jail, yo
Kati munnange ali eyo
Okumalawo bino olina kulonda
Nga kkumi na nnya fenna

Tugende
Bannayuganda tulonde (jjukiza munno)
Use your mandate
Eggwanga lyaffe likyuke (remember dat)
Tugende
Bannayuganda tulonde (mubagambe ab’eyo)
Use your mandate
Eggwanga lyaffe likyuke (daaa!)

Kati bano bayidde
Fenna bwe tulonda babeera bawedde, ayi
Kuba nze buli gye mpita
Abaana ba Uganda bonna beesunga, ayi
Bagamba nti kye baalinda
Amaaso maggule era bonna baabuuka
Anyway, omusana ka gwake
Umbrella weeri tulumbe
Enkuba keetonnye
Yo umbrella weeri tulonde, eeh
Kati gwe tickinga
Umbrella bw’ogiraba tickinga
Nkugambye tickinga
Manvuuli bw’ogiraba tosuula, ayi

Bannayuganda bannange mwenna
Yenze Kyagulanyi Sentamu Bobi Wine
Njagala okutuusa okwebaza eri mwenna
Olw’obuwagizi n’omukwano gwe mutuwadde
Mu campaign trail eno
Gye tubaddemu ebbanga lino lyonna
Wakati mu buzibu obw’amaanyi
Njagala okubajukiza omulundi ogusembayo mwenna
Ba ssebo ne ba nnyabo
Nti kulw’okuna luno nga kkumi na nnya
Guno omwezi gwe mukisa gwe tulina
Okusalawo ebiseera bya Uganda eby’omumaaso
Kuno okulonda kwe tugendamu kwa byafaayo
Kubanga akalulu ke tugenda okusuula
Ke katutwala mu Uganda empya
Mbajjukiza mwenna era mbasaba mujjukize bannammwe
Abakadde mubayambe bagende balonde
Abalwadde mubayambe bagende balonde
Ne mikwano gyo gijjukize gyonna gigende gironde
Kuba guno gwe mukisa gwe tulina
Okwetaasa ku bufuzi obwa musibiramubbwa
Guno gwe mukisa gwe tulina
Okuggyawo obufuzi obwa nakyemalira
Okuyingira mu Uganda empya

This is a clarion call to all fellow Ugandans
All of you that registered to vote
Remember, the fourteenth of January
This Thursday, is the deciding time
This is the opportunity that we have
To usher in a new Uganda
This is an election that is historical and revolutionary
So am reminding all of you fellow Ugandans
To turn up, in large, large numbers and vote
And make sure you protect your vote
Because this is history in making
Let us all come out and cast our vote
We are non violent
But we are democratic
We are many and if we come out
In large numbers, and vote
We can be able
To redefine the future of our country
Remember, bw’ogenda okulonda
Londa manvuuli ke kabonero ke tuyimiriddeko
Remember, when you go to vote
Choose the symbol of umbrella
And you’ll be choosing liberation
You’ll be choosing, freedom

Tugende
Bannayuganda tulonde (jjukiza munno)
Use your mandate
Eggwanga lyaffe likyuke (remember dat)
Tugende
Bannayuganda tulonde (mubagambe ab’eyo)
Use your mandate
Eggwanga lyaffe likyuke (daaa!)

(Visited 69 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

20 − thirteen =

<