Aneganye – Bobi Wine (2007)

About

Album: Kansubize
Released: 2007
Artist: Bobi Wine
Genre: Reggae

Lyrics

Na na na
Na na na naa
This a true situation
Yah know a man can’t love
Without money ah deh confusion ha
Bobi Wine and Tigan in a combination ha
Gando
Tigan

Tigan
Aneeganye
Nkanya kumuyita ali n’abagagga tammanyi
Aneeganye
Mukyala wange, answazizza
Aneeganye
Ne bwe mulinda mmala biseera yanjiye dda
Aneeganye
Bambi tandiiko naye ate annanze ki?

Tigan
Yannimbalimba obwedda
Mbuno ku nsi na kwafiira
Emyaka tubadde mw’etaano
Yanziba amaaso ne ŋonda
Eddembe lye bambi ne ndimuwa
Ky’ansaba ng’era kye ndeeta
Akeera bwa nkoko n’adda kiro
Nze manyi ali eyo anoonya money eh!
Naye Bobi yaŋamba
Oyo mukyala wo akusiba kiwaani
Bambi lwe nkiraba
Laba bwe musamba ate n’anvuluga!

Tigan
Aneeganye
Nkanya kumuyita ali n’abagagga tammanyi
Aneeganye
Mukyala wange, answazizza
Aneeganye
Ne bwe mulinda mmala biseera yanjiye dda
Aneeganye
Bambi tandiiko naye ate annanze ki?

Bobi
Dime, Tigan eh eh eh
Ogendereranga ogwa mukwano
Naddala nga tolina kaja eh eh
Lwakubanga eby’omukwano bikolera ku kaja
Ebigambo tebigula mata eh
Kati manya, nti abalungi balumya kufa
Naddala nga gw’ofunye mbaki
That’s why nakugamba nti sibuli mulungi nti mufumbi
Nga gwe amaddu gakuwalula
Nawulira ng’ogamba omutuufu omuzudde
Nti k’ofunye oyo abalala obasudde
Nze ne nkusaasira nga ndaba obusudde
Gwe ogamba muzudde ye agamba mukudde

Both
Aneeganye (boss)
Eh okanya kumuyita ali n’abaloodi yeeraze
Aneeganye (ha!)
Mukyala wange, answazizza
Aneeganye
Ne bw’omulinda omala biseera takuliiko
Aneeganye
Bambi tandiiko naye ate annanze ki?

Na na na
Na na na naa
Bobi Wine and Tigan in a combination ha
Na na na na
Na na ni ne na eh eh na
Gando
Na na na ne na

Both
Naakola ntya wuuyo agenze?
Talina na nsonyi abaana be abalese!
Namulabirawo nze mu ntandikwa
Amaaso ge nga gali mu ngalo bbo!
Ne nkubuusa nti otutte mbaki
Gwe musajja wattu era n’ompakanya
Saamanya nange naalibuuse
Ebiseera byange kale binnuma
N’omuliisa, n’omunywesa
Nze nga sirina kye simuwa
Gwe n’okola nnyo n’akayumba muzimbe
Nze ne fiizi ne njiiya

Both
Aneeganye
Nkanya kumuyita ali n’abagagga tammanyi
Aneeganye
Mukyala wange, answazizza
Dime, Tigan eh eh eh
Aneeganye
Ogendereranga ogwa mukwano
Naddala nga tolina kaja eh eh
Aneeganye
Eby’omukwano bikolera ku kaja
Ebigambo tebigula mata eh
Aneeganye
Nti abalungi balumya kufa
Naddala nga gw’ofunye mbaki
Aneeganye
That’s why, that’s why …..
Aneeganye
Aneeganye
Aneeganye

(Visited 81 times, 1 visits today)

Related articles

Playlists Have This Video

LEAVE YOUR COMMENT

Your email address will not be published. Required fields are marked *

three + eight =

<